Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes egudde ebifo 2 munsengeka z’ensi yonna nga bweziyimiridde mu kucanga endiba ez’omwezi oguwedde ogw’okusatu, ezifulumiziddwa ekibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA.
Uganda evudde mu kifo ekye 84 negenda mu kifo ekye 86,ate nga ku semazinga wa Africa Uganda esigadde ya 18, ate nga ekulembedde mu kitundu kya Cecafa.
Kitegerekese nti okugwa kwa Uganda kuvudde ku mutindo omubi gwe yayoleseza mu mpaka za Navruz Cup, ezibadde mu Uzbekistan.
Ku semazinga wa Africa Senegal esigadde yenywerezza ku ntikko ate nga munsi yonna ya 20.
Morocco yakubiri, Nigeria yakusatu, Mirisi yakuna, Tunisia yakutaano Cameroon yamukaaga n’endala.
Munsi yonna kati Brazil yekulembedde nga ewanuddeyo Belgium.
France yakusatu, Argentina yakuna, Bungereza yakutaano, Italy yamukaaga, Spain ya musanvu,Portugal ya munaana nabalala.
Ensengeka eziddako zifuluma nga 23 omwezi ogw’omukaaga.