Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes obuwanguzi bugibuuse mu ngalo mu mpaka za Africa Cup of Nations Qualifiers ez’omwaka 2025, bw’egudde maliri ne South Africa goolo 2-2.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe kya Orlando Stadium mu kibuga Johannesburg ekya SouthAfrica, wabula nga Uganda Cranes ekulembedde omupiira guno okutuusa eddakiika 6 zebongeddemu mu dakiika 90, olwo South Africa n’egatta omupiira guno.
Goolo za Uganda Cranes ziteebeddwa Dennis Omedi mu dakiika eya 51 ne Rogers Khassim Mato mu dakiika eya 53.
Goolo za South Africa ziteebeddwa Lyle Foster mu dakiika eye 14 ne Thalente Mbatha mu dakiika 6 ezongeddwamu.
Omutendesi wa Uganda Cranes, Paul Joseph Put, mu mupiira guno azanyisizza abazannyi okubadde omukwasi wa goolo Isma Watenga, Khalid Aucho, Azizi Kayondo, Ronald Ssekiganda, Allan Okello, Dennis Omedi, Steven Mukwala, Rogers Mato, Bevis Mugabi nabalala.
Uganda Cranes omupiira guno egwefuze ebitundu 36% ate South Africa egwefuze ebitundu 64%.
South Africa efunye amakoona 6 ate Uganda amakoona 5, South Africa omugatte ekubye pass 526 ate Uganda ekubye pass 299.
Mungeri yeemu South Africa ekubye shot ku goolo 18 nga ezibadde ku target zibadde 7 ate Uganda Cranes ekubye shot ku goolo 6 ate ezibadde ku target zibadde 3.
Kakaano Uganda Cranes egenda kuzaako okuzannya ne Congo Brazzaville ku Monday nga 09 September,2024 mu kisaawe e Namboole.
Mu mpaka zino Uganda Cranes eri mu kibinja K ne South Africa, Congo Brazzaville ne South Sudan, nga olunaku lw’eggulo Congo Brazzaville yakubye South Sudan goolo 1-0.
Uganda Cranes erwana okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations ezigenda okubeera e Morocco okuva nga 21 December, 2025 okutuuka nga 18 January, 2026.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe