Government ya Misiri edduukiridde Uganda egiwadde ekyuma ekikola eddagala erirwanyisa obulwadde bwa Kalusu mu bisolo.
Kibalirirwaamu doola za America emitwalo 70, bwe buwumbi bwa shilling za Uganda nga bubiri n’ekiitundu.
Ekyuuma kino kikwasiddwa Brig Gen Dan Kakono.
Kubaddeko ne doozi z’eddagala lya Kalusu eziweza akakadde kamu n’ekitundu , nga kati ziweze doozi obukadde 10 Misiri zeyaakawa Uganda okulwanyisa obulwadde bwa Kalusu.
Uganda yetaaga doozi obukadde 40 buli mwaaka okumegga Kalusu, nga lino limalawo obukadde bwa doola za America 176 buli mwaka.
Okubalukawo kwa Kalusu mu Uganda gyebuvuddeko kwaleetawo kalantini ku bisolo mu district 32, okuli Luweero, Gomba, Isingiro, Kazo, Kiruhura ne Ssembabule.
Minister Omubeezi ow’ebyobulimi ,Obulunzi n’Obuvubi Bwino Fred Kyakulaga agambye nti obuwanguzi buno buvudde ku nsisinkano omuduumizi w’eggye lyeggwanga Gen Muhoozi Kainerugaba gyeyaliko n’Omukulembeze wa Misiri Abdel Fattah Al-Sisi , bweyeeyama okukwasizaako Uganda mu bintu ebyenjawulo, nga n’Okutumbula eby’obulimi n’Obulunzi mwobitwaalidde.
Bisakiddwa: Kato Denis