Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’eggaali mu Uganda ekya Uganda Cycling Association, kifulumizza calendar egenda okutambulizibwako omuzannyo guno omwaka guno 2025.
Calendar eno etongozeddwa president w’omuzannyo guno, Sam Muwonge Mahabba.
Agambye nti balina omukago wakati wa Uganda Cycling Association ne kampuni eya Moonlight Events egenda okubakwasizako okutambuza emirimu gy’ekibiina okumala ebbanga lya myaka 3.
Calender etongozeddwa eriko empaka zino egenda okuvugibwa wano ewaka, ate n’empaka eziri ku mutendera gw’ensi yonna.
Sam Mahaba akinogaanyizza nti bagenda kutambuza emizannyo gino nga bakolagana ne club zonna 32 eziri wansi w’ekibiina.
Omuzannyo gw’eggaali omwaka guno gugenda kutandika n’empaka z’okuluguudo eza Road Race, ezigenda okuberawo nga 23 omwezi ogujja ogw’okubiri, era abavuzi bakutolontoka kilo mita 87.
Empaka za National Championships zijja kubeerawo nga 22 omwezi ogw’omukaaga, era abavuzi bajja kutolontoka kilo mita 120.
Ate ku mutendera gw’ensi yonna empaka zijja kutandika n’empaka za Tour Mauritius nga 26 omwezi ogw’omukaaga n’empaka endala zigoberere.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe