President w’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, Ssalongo Eng Moses Magogo, yebazizza omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, olw’okuwagira ttiimu z’eggwanga, ekiyambye Uganda Cubs okutuuka okukiika mu mpaka z’ensi yonna eza FIFA U17 World Cup.
Eng Moses Magogo bino abyogeredde ku Sheraton Hotel mu Kampala, ku mukolo gw’okwaniriza ttiimu y’eggwanga eyabazannyi abatasussa myaka 17 eya Uganda Cubs, okuva e Morocco gy’ebadde mu mpaka za Africa Cup of Nations U17.
Uganda Cubs mu kuvuganya mu mpaka zino yakoze ekyafaayo nga ttiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere esoose okukiika mu mpaka z’ensi yonna.
Yayiseewo okuvuganya mu mpaka za FIFA U17 World Cup ezigenda okubeera e Qatar omwaka guno 2025.

Ku mukolo gwe gumu omutendesi wa Uganda Cubs, Brian Ssenyondo, akinoganyizza nti ttiimu yasitula okugenda e Morocco n’ekigendererwa eky’okukiika mu mpaka z’ensi yonna era basobodde okukituukiriza.
Captain wa Uganda Cubs Richard Okello, yebaziza FUFA olw’omukisa gw’ebawadde okuzannyira ttiimu y’eggwanga, era yeyamye ku lwabazannyi okukola ennyo mu World Cup.
Amawanga 10 gegagenda okukiikirira Ssemazinga Africa mu mpaka z’ensi yonna eza FIFA U17 World Cup ezinabeera e Qatar, okuva nga 05 okutuuka nga 27 November,2025.
Bisakiddwa: Isa Kimbugwe