Ttiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, yakuzannya Mozambique olwaleero nga 20 March,2025, mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu FIFA World Cup ow’omwaka ogujja 2026.
America, Canada ne Mexico bebategese ba world cup 2026.
Omupiira gwa Uganda ne Mozambique gugenda kuzannyibwa mu kisaawe kya Cairo International Stadium e Misiri, ku saawa 10 ez’olweggulo,
Gugenda kuweerezebwa butereevu ku mpewo za radio CBS Fm 88.8, era ng’oguwulira butereevu okuyita ku mutimbagano guno ogwa www.cbsfm.ug.
Mozambique omupiira guno yasalawo kugukyaliza Misiri olw’kisaawe kyayo ekya Zimpeto National Stadium e Maputo okubanga kikyaliko ebibulako okutukana n’omutindo.
Uganda Cranes bwemaliriza okuzannya ne Mozambique ezaaki kukyaza Guinea mu kisaawe e Namboole ku Tuesday ejja nga 25 March,2025, ku ssaawa emu eyakawungeezi.
Omuzannyi Rogers Mato tagenda kuzannya mupiira gwa Mozamnique olwa kaadi 2 eza kyenvu, wabula omutendesi Paul Joseph Put, akakasizza nti abazannyi abalala bali mu mbeera nnungi ddala okuzannya omupiira guno.
Uganda Cranes mu mpaka zino eri mu kibinja G, era Algeria ekikulembedde n’obubonero 9, Mozambique yakubiri n’obubonero nayo 9.
Botswana, Guinea ne Uganda bonna basibaganye ku bubonero 6, ate nga Somalia yesembye terinayo kabonero konna.
Emipiira emirala egigenda okuzannyibwa, Malawi egenda kuttunka ne Namibia, Zimbabwe ne Benin, Cape Verde egenda kwambalagana ne Mauritius, Libya ne Angola, Gambia egenda kuttunka ne Kenya n’emipiira emirala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe