Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Paul Joseph Put, alangiridde ttiimu y’abazannyi 27 egenda okuzannya ne South Sudan mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu Africa Cup of Nations ow’omwaka ogujja 2025.
Paul Joseph Put ttiimu eno agirangiriridde ku kitebe kya FUFA e Mengo mu Kampala, era Uganda Cranes egenda kuzannya ne South Sudan emipiira 2.
Uganda y’egenda okusooka okukyaza South Sudan mu kisaawe e Namboole nga 11 October,2024 n’oluvanyuma Uganda Cranes egenda kukyala mu kisaawe kya Juba Stadium nga 15 omwezi gwe gumu.
Ttiimu eyitiddwa eriko abakwasi ba goolo 3 okuli Ismael Watenga, Alionzi Nafian ne Charles Lukwago.
Abazibizi kuliko Kenneth Ssemakula, Timothy Awanyi, Halid Lwaliwa, Gavin Kizito Mugweri, Azizi Kayondo, Odongo Anold, Isaac Muleme n’abalala.
Abawuwutanyi kuliko Saidi Mayanja, Taddeo Lwanga, Bobosi Byaruhanga, Allan Okello, Travis Mutyaba, Ronald Ssekiganda ne Khalid Aucho.
Abateebi kuliko Derrick Nsibambi, Dennis Omedi, Steven Mukwala, Shafiq Kwikiriza Nana, Jude Ssemugabi n’abalala.
Uganda Cranes mu mpaka za Africa Cup of Nations qualifiers eri mu kibinja K ne South Africa, Congo Brazaville ne South Sudan.
Uganda Cranes yakazannya emipiira 2 mu kibinja kino, era ekikulembedde n’obubonero 4, South Africa yakubiri n’obubonero 4, Congo Brazaville yakusatu n’obubonero 3 ate nga South Sudan esembye terinaayo kabonero.
Empaka za Africa Cup of Nations ezakamalirizo zigenda kubeera Morocco omwaka ogujja 2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe