Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, emezze Guinea ku goolo 1-0 mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganakiika mu FIFA World Cup omwaka ogujja 2026.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe e Namboole, era goolo ewadde Uganda Cranes obuwanguzi eteebeddwa Allan Okello mu Kitundu ekisooka.
Wadde Uganda Cranes ewangudde omupiira guno, naye ate abawagizi tebajjumbidde, era obutebe bungi bubadde bukalu.
Omupiira guno Uganda Cranes egwefuze ebitundu 46% ate Guinea ebitundu 54%.
Obuwanguzi buno bututte Uganda Cranes mu kifo eky’okusatu mu kibinja G n’obubonero 9, ate Guinea esigadde mu kua yakuna n’obubonero 7.
Algeria yekulembedde ekibinja kino n’obubonero 12, Mozambique yakubiri n’obubonero 12, Botswana yakutaano n’obubonero 6 ate Somalia yesembye erina akabonero kamu.
Emipiira emirala mu kibinja kino gigenda kuzanyibwa ekiro kino okuli Botswana ng’ettunka ne Somalia, ate Algeria egenda kuzuzumba ne Mozambique.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe