Ttiimu ya Uganda Cranes egenda kuzannya ne South Africa leero nga 15 November,2024 mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu Africa Cup of Nations, azinabeera e Morocco omwaka ogujja 2025.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa ku ssaawa 10 ez’olweggulo mu kisaawe e Namboole, era gugenda kuweerezebwa butereevu ku CBS FM.
Ttiimu zombiriri zijja mu mupiira guno nga zaamaze dda okuyitawo okugenda e Morocco, wabula zonna zirwana kukulembera kibinja K.
Uganda Cranes mu kiseera kino yekulembedde ekibinja K n’obubonero 10, South Africa yakubiri n’obubonero 8, olwo Congo Brazzaville yakusatu n’obubonero 4 ate South Sudan esembye n’obubonero 3.
Wabula Uganda ne South Africa baayiseewo oluvanyuma lwa South Sudan okukuba Congo Brazzaville goolo 3-2 e Juba.
Uganda Cranes obuwanguzi ebwetaaga okusigala ku ntikko y’ekibinja K.
FUFA yataddewo ensimbi 5000 eza doola eri Uganda Cranes singa ewangula South Africa, ate nga ne sipiika wa parliament Annet Anita Amongo Magogo yakyaddeko munkambi nawaayo obukadde 50, ate n’asuubiza ettu eddala singa Uganda ewangula omupiira guno.
Baddifiri okuva mu Chad be bagenda okulamula omupiira guno, era Alhadji Allaou Mahamat y’agenda okubeera mu kisaawe wakati, agenda kuyambibwako abawuubi b’ekitambala okuli Issa Bogola ne Moussa Hafiz, ate Abdelkerim Ousmanevle ye ddifiri ow’okuuna.
Uganda Cranes ezeemu okukiika mu Africa Cup of Nations omulundi ogwomunaana, nga ebadde yasembayo mu 2019 e Misiri.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe