Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes egudde maliri ga 0-0 ne ttiimu eyawamu eya Western Region mu mupiira oguzannyiddwa mu district ye Rukungiri.
Omupiira guno gubadde gwa nteekateeka eya Cranes Regional Tour, FUFA gye yatandika okusembereza bannayuganda ttiimu yabwe n’okusaggula ebitone ebipya.#