Abakugu mu kujjanjaba ekirwadde kya Kookolo bongedde okulaga obwetaavu bw’Okubunyisa Ensiisira z’Ebyobulamu, okumegga kookolo ayongedde okweriisa enkuuli mu bannansi awatali kwaawula mu myaaka.
Nga bayita mu kitongole ky’eggwanga ekirwaanyisa Kookolo ki Uganda Cancer Institute, basinzidde mu Lusiisira lw’Ebyobulamu olw’Okukebera Kookolo ku Uganda Cancer Institute e Mulago, mwebakeberedde abantu 250 ekirwadde kya Kookolo.
Abantu 102 ku 250 abakebeddwa babadde Basajja nga bano babadde bakeberwa Akatungulu, ate 148 babadde Bakazi nga bakebeddwa kookolo w’Omumwa gwa Nabaana ne Kookolo w’Amabeere.
Omukugu mu kujjanjaba Kookolo ku Uganda cancer Institute Dr Fred Okuku ategeezezza nti okumegga ekirwadde kusuubirwa okubaawo, ssinga bannansi bettanira amalwaliro government geyateeka mu bitundu ebyenjawulo, wamu n’Ebifo ebipya ebigenda okuzimbibwa.
Dr Fred Okuku asabye Abaami okwongera okwetegereza Obumu ku bubonero bwa Kookolo w’Akatungulu, era batandike okujjanjabwa mu budde.
Okunoonyereza kulaga nti ku buli basajja abalwala Akatungulu, 70% bagenda okutuuka mu malwaaliro nga embeera eyonoonese, songa abakyaala ebitundu 83% bagenda okutuuka mu Malwaliro nga Kookolo w’Amabeere n’Omumwa gwa Nabaana babisensera dda.
Abasajja ebitundu 4 – 5% bebasangibwa ne kkookolo w’amabeere.
Omwogezi wa Uganda Cancer Institute Christine Namulindwa agambye nti omuwendo gwebakebereddwa gulaga lwaatu nti Obwetaavu bw’Abantu okumanya bwebayimiridde ku Kookolo bukyaali bwamaanyi ddala.
Uganda Cancer Institute yataddewo ennaku bbiri Monday nga 11 November ne Tuesday 12th November, okukebera abantu kookolo ow’ebika byonna ku bwereere.#
Bisakiddwa: Kato Denis