Ekitongole kya government ekivunaanyizibwa ku Masanyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Distribution Company Ltd UEDCL, kirangiridde ebintu 7 byekituseeko oluvanyuma lw’ennaku 41 okuva lwebakwata obuyinza nga babugya ku kitongole kya UMEME, ekyali kimaze emyaka 20 nga kiddukanya amasanyalaze mu Uganda.
Ebintu bino omusanvu byebakozeeko mulimu okusomesa Bannauganda okugula amasanyalaze nga bayitira mu nkola enkadde eya UMEME, naddala abo abasasula nga beyambisa essimu.
Ensonga endala bagamba nti basobodde okutereeza transformer 262 okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo zebaasanga nga nfu, era buli lunaku kyenkana babadde batereeza transformer ezibadde tezika wansi wa taano.
Era UEDCL egamba nti esobodde okuwa Bannauganda abawerako emirimu, bawandisizza abakozi abapya 2200.
Bano era bagamba nti batererezeeza ekizibu kyamasanyalaze agabadde gavavaako, era basobodde okuyunga ba Customer abapya 589, ate era nga balubirira okuwandiisa ba Customer abalala abapya emitwalo 270,779.
Jonan Kiiza Omwogezi wa UEDCL, Asinzidde mu lukuηaana lwa bannamawuiire lwebatuuzizza mu Kampala, nasuubiza Bannauganda obuweereza bwamasanyalaze obw`omuggundu.
Wabula ono era ategezeeza nti okuva lwebaakwata office basomozeddwa nnyo n’ekizibu ky`obubbi bwebintu ebikozesebwa mu kutambuza amasanyalaze, gamba nga waya, transformer n’ebirala.
Bisakiddwa: Musisi John