Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Cricket mu Uganda ekya Uganda Cricket Association nga bakolaganira wamu ne National Council of Sports, baweerezza ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa Cricket eya Victoria Pearls yabazannyi 14, egenze kuzannya mu Nepal okuzannyamu emizannyo egy’omukwano.
Victoria Pearls yetegekera mizannyo egy’okusunsula abanetaba mu kikopo ky’ensi yonna.
Egenda kuzannya ne Nepal emizannyo 5 okuva nga 16 – 21 omwezi guno ogwa May 2022, mu mizannyo egya Five T20.
Emizannyo gino gigenda kuzanyibwa mu kisaawe kya Tribhuvan University Cricket Ground.
Guno gugenda kubeera mulundi gwakusatu ttiimu eno okufuluma Africa okuzannya emizannyo egy’omukwano, nga yasooka mu 2016 mu UAE mu mpaka za UAE International Women T20 Cup.
Ogw’okubiri gwaliwo mu July 2018 e Netherlands mu mpaka za T20 Global qualifiers
Wano mu Africa ttiimu eno ezannye emizannyo egy’omukwano mu Kenya, Rwanda, Zimbabwe, Namibia ne South Africa.
Ttiimu ya Victoria Pearls esitudde leero okugenda e Nepal.
Akulira eby’emirimu mu Uganda Cricket Association, Martin Ondeko, yategezezza nti Nepal yeyamye okutuukiriza obuvunanyizibwa bw’okulabirira ttiimu eno, era empaka zino bagenda kuzeyambisa okwetegekera empaka za World Cup qualifiers ezibindabinda.
Abazannyi ba Victoria Pearls abagenze;