Firimu egenda okutongozebwa ekwata ku bulamu bw’eyali Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Janaan Luwumu n’ebyaliwo ng’attibwa.
.
Nampijja Catherine akulembeddemu Firimu eno etuumiddwa The Last Stand of Janaan Luwuum, ategeezezza nti baafuna okusomoozebwa kw’Ebyafaayo bya Janan Luwumu ebyaabuna ensi yonna , ate nga mu Uganda ajjukirwa kitono ddala.
Nampijja bw’abadde ayanjulira bannamawulire firimu eno ku mukolo ogubadde mu Masengere, agambye nti oluvannyuma lw’Okufuna abantu abenjawulo e Bulaaya nga boogera ku Ssaabalabirizi Janaan, baatandika okunoonyereza mu mwaka gwa 2019, era nebasalawo okuwandiika firimu ku byaaliwo nga tanatirimbulwa gavumenti ya Idi Amiini Dada.
Nampijja ategeezezza nti wakyaliwo obwetaavu bw’Abaddugavu okuteeka ebyafaayo byabwe mu buwandiike, kimalewo ebikyamu byonna ebibogerwako, naddala Abakulembeze.
Rev Dan Kajumba nga yoomu ku bazannyi ab’enkizo mu firimu The Last stand of Janaan Luwuum, agambye nti firimu eno ekoleddwa ku mutendera gwansi yonna, era erimu ebiyigiriza bingi eri abavubuka n’abakadde.
Firimu eno egenda kutongozebwa nga 7 December, 2024 ku Acacia Mall e Kamwokya.
Nnaabagereka Sylivia Nagginda yasuubirwa okugiggulawo.
Abaneetaba mu kutongoza firimu eno baakusasula emitwaalo 75,000 n’emitwalo 150,000 VIP.
Bisakiddwa: Kato Denis