Stromme Foundation kitongole ky’obwannakyewa ekigenderera okulwanyisa obwavu, n’okukyusa obulamu bw’abantu, nga kiyita mu kubasomesa ebintu ebyenjawulo ebisobola okubayimirizaawo.
Kyatandikibwawo mu 1976,ng’ekitebe kyakyo ekikulu kiri mu ggwanga lya Norway, wabula nga kirina wofiisi mu bitundu ebyenjawulo, nga wano mu East Africa bali mu Uganda, Tanzania, Kenya ne SouthSudan.
Stromme yatandika obuweereza bwayo mu Uganda mu 1982, ate mu 1994 lweyaggulawo wofiisi zaayo mu kibuga Kampala Plot 1 Kololo hill drive, Block A Level 2.
Stromme Foundation bannamukago ne CBS, era nga bebavujjirira emirimu gy’ekitongole kya CBS Pewosa NGO.
Mu nteekateeka eno, mulimu okusomesa abantu okweterekera ku sente zebafuna nga bayita mu bibiina byabwe byebegattiramu, ng’abantu abemenayi obulungi era nga betegeera, bewola ensimbi ku magoba amatono, n’okwetandikirawo emirimu okuyita mu nkola ya PEWOSA ( Project to Empower Women through Savings and loan Associations).
Mulimu okusomesa abavubuka emirimu gy’emikono okweyimirizaawo n’okulwanyisa Obwavu.
https://eastafrica.strommefoundation.org/