Ekitongole ky’obwanakyewa ki Stroke Foundation Uganda ekibudasbudda abantu abalina ekirwadde ky’okusanyalala kiwanjagidde government eyongere ku nsimbi n’obuvujirizi obuweebwayo okujjanjaba ekirwadde kino.
Abaddukanya ekitongole kino bategezeezza nti wakyaliwo obwetaavu okusomesa bannauganda ku bikwata ku bulwadde bwa Stroke , naddala engeri gyebukwatamu nenzijanjaba yabwo, oluvanyumwa lw’okukizuula nti abantu bangi tebamanyi bikwata kubulwadde bwa Stroke.
Dr.Bukenya Ibrahim okuva mu Stroke Rehabilitation Centre asinzidde ku wofiisi z’ekitongole kino e Wampeewo, ku misinde egitegekeddwa okuyambako abantu abatawanyizibwa ekirwadde kino n’okusomesa abantu ku bulwadde bwa Stroke, nasaba government essira eriteeke ku kusomesa abantu okwetangira obulwadde bw’okusanyalala.
Mwebe Cristopher nga kawonawo w’ekirwadde kyokusanyalala agamba nti obulwadde buno bwali bumulumbye wabula olwokubwanguyira kyamuyamba okubuwona.
Abamu ku betabye mu misinde gino bategezeezza nti abantu bangi abali mu bulabe bw’okukubwa Stroke, wabula nga tebakimanyi nga basanye okusomesabwa.
Uganda yakwegatta kunsi yonna okwefumitiriza ku kirwadde kya Stroke nga 29 October, omwaka guno 2029, era wakuberawo omusomo ogukwata ku bulwadde buno ku kitebe kya Stroke Foundation Uganda e Wampeewo.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius