Bya Issah Kimbugwe
St Mary’s Kitende yesozze oluzannya olwakamalirizo mu mpaka z’amasomero ga senior ez’omupiira ogw’ebigere, eza National Post Primary Chmpionships eziyindira mu Arua.
St. mary’s ekubye Kibuli SS goolo 3-1 mu semifinals.
Mu mpaka zákamalirizo St. Mary’s Kitende egenda kuttunka ne St Andrews Kaggwa Gombe, ewandeddemu Buddo SS goolo 2-0.
Omupiira ogwakamalirizo wakati wa St Mary’s Kitende ne St Andrews Kaggwa Gombe gugenda kuzanyibwa enkya ku lw’okutaano.
Wagenda kusookawo omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu wakati wa Kibuli SS ne Buddo SS.
Ate mu mpaka za University Football League, Kyambogo University ekubye Bishop Staurt University goolo 3-0 e Kyambogo.
Empaka ziddamu enkya n’omupiira gumu, YMCA ng’ettunka ne St Lawrence University.