
Bya Issah Kimbugwe
Ttiimu y’essaza Ssingo erangiridde Simon Ddungu ng’omutendesi omugya owa ttiimu eno,emuggye mu Busiro gyeyatendeka omwaka oguwedde.
SSingo yetegekera empaka z’amasaza ez’omwaka guno, zitandika omwezi ogujja ogwa June 2022.
Simon Ddungu amanyiddwa nga Ddunga, mutendesi wa club ya Mbale Heroes eya Region League.
Ddungu azze mu bigere bya Emmy Kisakye eyatendeka Ssingo omwaka oguwedde, nga kati azze ku kya bumyuka, ne Regan Lule ye mutendesi wa bakwasi ba goolo.
Simon Ddungu atendese tiimu zámasaza eziwerako, ajjukirwa okuwangulira Gomba ekikopo mu 2017, Mawokota mu 2013 ng’omumyuka w’omutendesi.
Yatendekako amasaza amalala okuli Buwekula, Mawogola ne Busiro.
Ssingo yakawangula empaka za masaza emirundi 2 mu 2015 ne 2018, wabula omwaka oguwedde 2021 teyava mu kibinja yali etendekebwa Emmy Kisakye.