Ebya ttiimu y’essaza Mawokota byongedde okuba ebibi mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere bwekubiddwa Ssese goolo 1-0 mu kisaawe e Lutoboka.
Goolo ewadde Ssese obuwanguzi eteebeddwa Ariaka Jodan mu kitundu eky’okubiri, kati Ssese egenze ku bubonero 6 ate ne Mawokota esigadde ku bubonero 6 mu kibinja Masengere.
Emipiira emirala egigenda okuzannyibwa enkya ku Sunday nga 18 August, era mu kibinja kye kimu Masengere Kabula yakuzannya ne Buvuma e Bakijjulula Lyantonde ate nga Busujju ejja kuzannya ne Busiro mu kisaawe e Kakindu.
Mu kibinja Muganzirwazza, Kyaggwe ejja kuzuzumba ne Ssingo e Mukono, Mawogola ne Buweekula e Ssembabule ate nga Kkooki yakubulonda ne Gomba ku kisaawe kya Rakai PTC.
Mu kibinja Bulange, Buddu yakuttunka ne Butambala mu kisaawe kya Kitovu Arena, Buluuli yakuzannya ne Bulemeezi e Kakooge ate nga Bugerere yakwambalagana ne Kyadondo mu kisaawe e Ntenjeru.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe