Ssentebe wa LC5 mu district ye Kitagwenda Mushemeza Ismail Kambanda asimbiddwa mu kkooti ento e Kamwenge navunaanibwa emisango egyekuusa ku kuggya ku bantu ssente ng’abasuubizza emirimu.
Okusinziira ku kakiiko akalwanyisa enguzi mu Maka gwobwa bwa President aka State House Anti Corruption Unit wamu police Kambande abadde alimba abantu nti agenda okubafunira emirimu ku district era nabawa ebiwandiko byokujjuza okusaba emirimu egyo
Oludda oluwaabi lulumiriza nti mu mwaka 2024 ne 2025 Kambanda ngali wamu naabalala abatanakwatibwa yafuna ssente ku bantu naddala abaali banoonya emirimu egy’abasawo abazaalisa ngabalimbyelimbye nti agenda kubafunira emirimu egyo.
Akwatiddwa oluvanyuma lw’abatuuze be Kitagwenda ab’ekubira enduulu mu kakiiko ka State House Anti-Corruption Unit nga bamumiriza nti abadde abaggyako sente eziri wakati wobukadde 5 ne 15 oluvannyuma lwokubalimba okubafunira emirimu.
Kigambibwa nti ensimbi zino abatuuze abamu bazikwasa ssentebe yennyini ate abalala baazimuwa okuyita mu bantu beyali ataddewo (ba agents), abaabawa nga ebiwandiko ebikakasa nti baweereddwa emirimu.
Abakulu mu kakiiko ka State House Anti-Corruption Unit bagambye nti ssentebe bweyategera nti bamulonkomye yasuulawo wofiisi ye nadduka,era bulijjo babadde bamunoonya okutuusa webamuguddeko ne bamukwata nga bayambibwako police.
Okusinziira ku biwandiiko ebiri mu kkooti, sentebe omusango agwegaanye era bwatyo nasindikibwa lu alimanda okutiusa nga 6 January omwaka ogujja 2026.
Bisakiddwa: Betty Zziwa












