Wabaddewo akasattiro mu ssamba ly’ebikajjo erya kampuni ya Metta erisangibwa e Nakyessa-Kaato mu ggombolola ye Kayonza mu district ye Kayunga, abakozi bwebasanze ssanduuko y’omufu ng’esuuliddwayo wabula tebaddemu mulambo.
Ssanduuko eno ebadde eteereddwako emmwanyi enfumbe, esaaniko erizinge, ebikolakola ebikunye ne ssente enkalu
Ojangole Muhammad, akulira eby’okwerinda mu kampuni ya Metta mu Kayunga, agamba nti keesi eno yaaliba ng’ebadde yaziikibwamu omuntu, nga abaagala okukola ebyawongo bebaajiziikudde.
Bbo abamu ku bakozi mu masamba g’ebikajjo gano, batidde okugenda okukola mu ssamba ewabadde ssanduuko olwokutya kwebafunye nokulowooza nti ekifo kyalibaamu abayinza okubatuusaako obulabe.
Kyokka wabaddewo katemba bwewavuddeyo omusajja atategerekese mannya bweyeweze okwetwalira ssanduuko eyo, nti ajitunde ssonga ne ssente ezisangiddwawo agambye wakuzeguliramu waragi.
Wetukoledde emboozi eno nga tewaavaayo bantu alaga nti bebannyini ssanduuko.