Emisango emiggya egibagguddwako kuliko okulagajjalira emirimu gyabwe nebalemererwa okusaawo emiziziko egiremesa ababba ensimbi z’omuwi w’omusolo, nekiviirako eggwanga okufiirwa obutitimbe bw’ensimbi.
Ssaabawaabi w’emisango gya government ategeezezza nti police emalirizza okunoonyereza ku misango gino, era nasaba nti abavunaanibwa baweerezebwe mu kooti ewozesa abalyake n’abakenuzi eya Anti-Corruption Division of the High Court batandike okwewozaako.
Ebiwandiiko ebiri mu kooti biraga nti obuwumbi bwa shs 60, abakozi abo babuwesa ekkoona ne babuweereza kampuni ya International Development Association e Poland, kyokka nga zaalina kuweerezebwa International Development Association e Washington, D.C.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti mu kuweereza ensimbi ezo waaliwo okwekobaana wakati w’abakozi, nebakola omupango nebazisindika eri kampuni ya International Development Association e Poland ne Road-Way Company Limited eye Tokyo, Japan.
Abakozi bano 9 mu kusooka baali baggulwako emisango 11gyokka egyekuusa ku bulyake n’obukenuzi, okukozesa obubi wofiisi n’okufiiriza eggwanga mu 2024.
Kati bongedde okusomerwa emisango emirala 8, egikwata ku by’okukusa ensimbi nga bakozesa omutimbagano
Emisango kati egibavunaanibwa giweze 19.
Bisakiddwa: Betty Zziwa