Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere asiimye Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu Radio CBS, olw’omulimu amakula gwebakola kuwagira n’okuzimba ekifo awajjanjabirwa abagudde ku bubenje mu ddwaliro e Nkozi.
Ssaabasumba Ssemogerere asinzidde ku kijjulo kyategese ku Mestil Hotel e Nsambya okwebaza abantu ssekinnoomu, ebitongole ne bannamukago abavujjirira omulimu guno.
Mu ngeri ey’enjawulo Ssaabasumba yebazizza abaweereza ba Program Kaliisoliiso, olw’omulimu gwebakola olw’enteekateeka eno ate n’eddoboozi lyabwe buli lunaku eri abagoba b’ebidduka n’abakozesa enguudo okwewala obubenje.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa era Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka ekyeggulo kya Kaliisoliiso, ategeezeza nti omulimu wegutuuse guwa essuubi era ategeezeza nti waliwo enteekateeka nnyingi ez’okwongera okunoonya ensimbi ezigumaliriza.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe ategeezezza nti bwebaawoma omutwe mu nteekateeka eno batambulira mu buwuufu ne ku biragiro bya Ssaabasajja.
Ku mukolo guno ab’eddwaliro ly’e Nkozi bakwasizza Olukiiko oluteekateeka ekyeggulo kya Kaliisoliis, buli omu ejjinja okusiima olw’okwewaayo kwabwe mu kuggusa omulimu guno ne gabakwasiddwa Ssaabasumba Paul Ssemogerere.#












