Mu bubaka bwa Ssabasajja Kabaka bwatisse Nnalinnya Sarah Kagere ku mukolo ogw’okutongoza Kampeyini etuumiddwa TUBEERE BALAMU Community Health Campaign,Omuteregga asiimye ensiisira z’eby’obuolamu zibune mu masaza gonna okumala emyaka 3.
Entegeka eno ekulembeddwamu Ekitongole kye ki Kabaka Foundation nga yakutalaga amasaza gwonna nga bawa abantu obujjanjabi bwonna ku bwereere.
Omukolo gw’okujitongoza gubadde mu Bulange e Mengo.
Ssabasajja Kabaka alagidde abantu bonna okujjumbira ensisira z’ebyobulamu okwekebeza eddwadde ezenjawulo okumanya webayimiridde, babeere balamu bakole emirimu ejibatwala mu maaso.
Essira ligenda kussibwa ku kyakukebera siriimu, kkokoolo w’omumwa gwa Nnabaana n’akatungulu k’abasajja n’endwadde endala.
Omukubiriza w’olukiko lwa Buganda ku lwa Katikiro, Owek Patrick Lubaga Mugumbule yeyanziza nnyo Ssabasajja Kabaka olwokutekawo Ekitongole ekya Kabaka Foundation ekisitudde Embeera z’abantu n’okubajjanjaba.
Ku lw’ekitongole kya Kabaka Foundation, Ssebawolereza wa Buganda era memba Ku Board, Owek. Christopher Bwanika aweze nti nga Ekitongole bakukola butaweera okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwatandisawo Ekitongole kino, era nga Ssente eziri mu Buwumbi 2 zezeetagibwa okutuukiriza Kampeyini eno.
Kulwa Bakulembeze abenzikiriza z’eddiini nga bano basaale mu Kampeyini eno Super Supreme Mufti Muhammad Ggalabuzi ategezezza nti awatali kweyawulamu ng’abakulembeze be nzikiriza bakukuunga abantu okwetannira obujjanjabi buno.
Kampeyini eno yakumala emyaka 3 ng’ebunyisibwa amasaza ga Buganda era nga yakutandiikira mu ssaza Buddu, mu December 2024, nga yakubeera ya nakku 4 mu buli ssaza
Bisakiddwa: Nakato Jeniffer