Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye obuweereza bw’abadde omukiise we mu lukiiko lwa Buganda Owek Joyce Mpanga, gwayogeddeko nti yali musaale mu kuzzaawo Obwakabaka obwali busanyiziddwawo Obote.
Mu bubakabwe bwatisse Nnaalinnya Sarah Kagere mu kusaba okw’okweebaza Katonda olw’obulamu bwa Owek Joyce Mpanga mu Lutikko e Namirembe, Maasomooji agambye nti okufa kw’Owek Joyce Mpanga kulese eddibu ddene mu Bwakabaka.
Mu kusooka Kamalabyonna wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga bweyabadde agenzeeko mu Maka g’Omugenzi okukubagiza, n’atendereza omugenzi nti abadde ayagala nnyo Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka, ssaako okulwanirira eddembe ly’Abakyala.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa,agambye nti Omugenzi Owek Joyce Mpanga wamu ne bba baakola kinene mu kuzzaawo Obwakabaka, era nga yali wa nkizo nnyo eri Ssekabaka Muteesa II.
Minister omubeezi owa tekinologiya Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo ku lwa government ategeezezza nti olw’ebyo ebirungi byakoledde ensi Eno, Owek Joyce Mpanga waakukubirwa emizinga esatu bw’anaaba aziikibwa ku Thursday nga 23 November,2023 e Maya.
Nnaabagereka Sylvia Najjinda ayogedde ku mugenzi Owek Joyce Mpanga,nga omuntu abadde omuwi w’amagezi owenjawulo, songa abadde mwagazi wa Bwakabaka ateetiiririra.
Owek FK David Mpanga ku lwa baana banne, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka bwonna olwokwaagala ennyo maama wabwe, n’Okumukkiririzaamu.
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Dr Steven Samuel Kazimba Mugalu yeebazizza Owek Joyce Mpanga olwokwaagala ennyo Katondawe nga ayita mu kuwagirwa ekkanisa, wamu n’Obwakabaka bwe.
Akulira oludda oluwabula gavumenti Owek Mathias Mpuga Nsamba, alabudde ku bikolwa ebityoboola eddembe ly’Obuntu ebikyagenda mu maaso ku ggwanga, byagambge nti byeebimu kweebyo Owek a1Joyce Mpanga byeyali avumirira.
Okusaba kuno kwetabiddwako ebikonge mu Bwakabaka omubadde Abalangira n’Abambejja,ba Katikkiro abaawummula, ba minister ba Kabaka naaba governmrnt eyawakati, n’ebikonge ebirala bingi.
Bisakiddwa: Kato Denis