Abawagizi ba ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes balaze obutali bumativu olw’omutindo ogw’ekiboggwe Uganda Cranes gw’eyoleseza South Africa mwegikubidde goolo 2-0.
Mu mupiira guno Uganda Cranes kumpi terina kyekoze, era South Africa omupiira egwefuze ekiseera kyonna.
Abamu ku bawagizi balaze okutya nti Uganda newankubadde yayiseewo okuzannya mu Africa Cup of Nations, etekeddwa okwetereeza bwenabeera yakuvuganya ku mutindo.
South Africa kati ekulembedde ekibinja K n’obubonero 11, Uganda Cranes yakubiri n’obubonero 10, wabula Uganda Cranes ejja kudda mu kisaawe nga 19 omwezi guno ogwa November 2024, okuzannya ne Congo Brazzaville.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe