Olukiiko oluddukanya empaka ez’omupiira ogw’ebigere ez’amatendekero agawaggulu eza Pepsi University Football League, lukalize Ssetendekero wa Soroti University obutaddamu kuvuganya mu mpaka ez’omwaka guno olw’okuzannyisa abazannyi abatakirizibwa mu mateeka.
YMCA yekubira enduulu mu kakiiko ng’erumiriza Soroti University okuzannyisa abazannyi 2 abatalina License, mu mupiira ogwaliwo nga 26 October,2026, okuli Bambaga Joseph ne Osaka David.
Mu kusooka akakiiko kaabadde kaweze Soroti University emyaka 2, kyokka oluvanyuma lw’okukkiriza ensobi yabwe, kati bayimiriziddwa omwaka gumu gwokka.
Wabula bano bakubiddwa engasi ya mitwalo 50, n’emitwalo 30 okuliriyirira ebyo ebisasanyiziddwa mu musango guno.
Oluzannya olw’okuddiηana olwa season ya 2025/26 lugenda kuddamu omwezi guno ogwa February, era nga Ssetendekero w’Obwakabaka owa Muteesa The First Royal University ze zimu ku ttiimu ezivuganya mu mpaka zino.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













