Sipiika wa parliament Anita Annet Among eyakalondebwa ku kifo kino aliko bingi byafaanaganya n’omumyuka we Thomas Tayebwa,ng’oggyeko okuba nti bombi bannakibiina kya NRM.
Bombi baliko ebifo ebyamaanyi byebaalekulidde okwesimba ku bifo bino byebaawangudde, ekya sipiika n’omumyuka we.
Obulamu bwebayiseemu mu by’okusoma n’ebyafaayo byabwe mu by’obufuzi bifaanagana.
Anita Among mukugu mu by’amateeka n’obusuubuzi, so nga n’omumyuka we bwebukugu bwalina.
Among yazaalibwa nga 23 November 1973, mu district ye Bukedea era ye mubaka omukyala akiikirira district eyo.
Amasomo ge ag’ebyobusuubuzi n’enfuna abitandika 2005 bweyegatta ku Makerere University,era natikkirwa degree ye mu kubala ebitabo mu mwaka gwa 2008.
Yaddayo n’asoma era natikkirwa Degree ey’okubiri (masters ) mu by’obusuubuzi.
Yayongera ebitabo okubinnyikiza era naddayo n’asoma yafuna degreeu mu by’amateeka okuva mu Kampala International University mu 2018.
Anita Among parliament agiyingira mu 2016,yesimbawo talina kibiina kwajidde wabula nga mu biseera ebyo yali mu FDC.
Mu 2020 yasala eddiiro naava mu FDC neyegatta ku NRM, mu kiseera kakuyege w’okulonda kwa 2021 yali atandise okukwajja.
Mu kulonda kwa 2021 yagira ku kaadi ya NRM ku kifo ky’omubaka omukyala owa Bukedea naawangula, era nga 24 may,2021 yalondebwa nga omumyuka wa sipiika wa Parliament.
Mu bbanga ery’emyezi omwenda parliament oy’omulundi ogwe 11 gweyakamala,Among abadde yakakubiriza entuula 90,olwa Jacob Oulanyah abadde sipiika okutandika okunafuwa ng’atawanyizibwa obulwadde mu bbanga ttono nga yakalondebwa.
Olukiiko olufuzi olwa NRM kwerwesigamye okusimbawo Anita Among okukwata bendera y’ekibiina mu kulonda sipiika,okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah eyafiiridde mu kibuga Seatle ekya USA.
Ababaka 12 bebaabadde besowoddeyo okukwata bendera y’ekibiina.
Akabondo k’ababaka ba NRM nako kawagidde okusalawo kwa CEC nebayiira Among obululu. Yafunye obululu 401 nga yawangudde munna JEEMA Asuman Basaalirwa akiikirira Bugiri municipality eyabadde asimbiddwawo oludda oluvuganya government eyafunye obululu 66.
Omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa naye mukugu mu by’obusuubuzi n’amateeka.
Yazaalibwa nga 10 November, 1980, mu district ye e Mitooma.
Yasomera mu Kigarama Primary School ne Kigarama Secondary school.
Yasoma amasomo ga Social Science n’amateeka okuva mu Makerere University.
Vice Chancellor wa Makerere University Barnabas Nawangwe ayogedde ku buwanguzi bw’ababiri bano Anita Among neThomas Tayebwa ng’ekirabo kyebawadde university yabwe ng’ejaguza emyaka 100 bukyanga etandikibwawo (bombi gyebaasomera degree zabwe ezisooka).
Yeyongerayo okusoma n’afuna degree mu ey’okubiri (MBA) mu kuddukanya business oba Business Administration mu 2021 okuva mu Esami University esangibwa mu kibuga Arusha ekya Tanzania.
Mu 2016 naye lweyasooka okulondebwa ng’omubaka wa Ruhinda North ku kaadi ya NRM,wabula nga yasooma kuwagira kibiina kya FDC.
Mu kalulu kalulu ka 2021 yazzeemu okulondebwa okukiikirira Ruhinda North. Mu mwaka gwe gumu mu mwezi gwa June, yalondebwa okubeera Nampala wa government.
Yasazeewo n’alekulira ekifo ekyo navuganya ku bumyuka bwa sipiika era nawangula. Yawangudde Okot Biteek junior akiikirira Kyoga, eyaleeteddwa oludda oluvuganya government.