Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Cranes ekubye ttiimu eyawamu eya Masaka Select obugoba 16 – 03 mu mupiira ogw’omukwano oguzanyiddwa ku kisaawe kye Kasana Nyendo Masaka.
She Cranes omupiira guno ebadde egugendereddemu okwetegekera obulungi empaka za Commonwealth Games,ezigenda okubeera e Birmingham mu Bungereza omwezi ogujja ogwa July 2022.
She Cranes nga tenazannya mupiira guno, yasoose mu kusaba mu Lutikko e Kitovu.
Mu kusaba kuno omwami wa Kabaka owe ssaza Buddu, Ppookino Jude Muleke, yakubiriza abazannyi ba ttiimu okusiga obulungi ensimbi ezibawebwa zisobole okubagasa nga bannyuse omuzanyo guno.
Ttiimu eno era ekoze bulungibwansi mu katale ke Nyendo,era president w’omuzannyo Babirye Kityo Sarah, asimbye omuti ku katale kano ng’akabonero k’okukuuma obutondebwensi.
Mu mpaka za Commonwealth Games She Cranes yatekebwa mu kibinja B nabategesi era banantamegwa b’empaka ezasembayo mu 2018 aba Bungereza.
Abalala abali mu kibinja ye New Zealand, Trinidad and Tobago, Northern Ireland ne Malawi.
Uganda ya kuggulawo ne New Zealand nga 30 July.
Empaka za Commonwealth Games zigenda kuberawo okuva nga 28 July okutuuka nga 8 August omwaka guno.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe