Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’okubaka eya She Cranes, akalulu kagisudde mu kibinja B mu mpaka z’ensi yonna eza Commonwealth Games ezigenda okubeera mu kibuga Glasgow ekya Scotland omwaka ogujja 2026.
Empaka.zino zeetabwamu amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza.
Mu kibinja B ekya Common Wealth Games 2026, Uganda She Cranes erimu ne New Zealand, Jamaica, Wales, Scotland ne Trinidad and Tobago.
Ekibinja A mulimu Australia, England, South Africa, Malawi, Tonga ne Northern Ireland.
Omugatte amawanga 12 agasinga okukola obulungi mu muzannyo gw’okubaka gegagenda okuvuganya mu mpaka zino, okuva nga 25 July okutuuka nga 2 August,2026.
She Cranes erisooka kuzannya ne Wales nga 25 July, nga 26 ezannye ne Trinidad Tobago, 27 ezannye ne Jamaica, nga 28 ezaanye ne New Zealand ate esembyeyo Scotland nga 30 July.
She Cranes yakazannya emirundi 2 mu mpaka za Commonwealth Games, nga ogwasooka yakwata kya 6 mu 2018 mu Gold Coast, ate mu 2022 e Birmingham yakwata kya 5.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












