Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’okubaka eya She Cranes eremereddwa okukiika mu mpaka za Africa ez’omwaka guno eza African Netball Championships, oluvanyuma lw’abakulu okulemererwa okukunganya ttiimu okuvuganya mu mpaka zino.
Empaka za African Netball Championships zaatandise ku Sunday nga 26 December,2023 mu Botswana.
Moses Mwase sentebe w’akakiiko akaatekebwawo ekibiina ekiddukanya omupiira gw’okubaka munsi yonna okulondola n’okuteekateeka okulonda kw’obukulembeze obupya obwa Uganda Netball Federation, agambye nti kibadde kizibu okuteekateeka ttiimu wakati mu kusoomozebwa n’okusika omugwa kw’obukulembeze obwa Uganda Netball Federation.
Embiranye mu bukulembeze bwa Uganda Netball Federation, yabalukawo oluvanyuma lw’obutakanya wakati wa president Babirye Kityo Sarah ne ssabawandisi wa National Council of Sports Patrick Bernard Ogwel abamaze ekiseera nga basika omugwa ku nkola y’emirimu.
Kyawaliriza minister w’ebyemizannyo Janat Kataha Museveni, okuyimiriza Babirye Kityo Sarah asooke anonyerezebweko ku vvulugu agambibwa okulabikira mu bukulembeze bwe, olwo entebe n’esigalamu omumyukawe Brig Gen Flavia Byekwaso.
National Council of Sports yasazamu License ya Uganda Netball Federation era nga tewakyali nkolagana yonna.
Embeera eno yawaliriza ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno munsi yonna okulonda akakiiko akakulirwa Moses Mwese okuteekateeka okulondesa obukulembeze obugya.
Moses Mwase agambye nti betaaga akadde akawerako ddala okuteekateeka okulonda kuno, naddala nga emirimu mingi egyetaaga okukolebwa omuli n’okusooka okwetegereza ssemateeka.
Wabula newankubadde She Cranes eremereddwa okwetaba mu mpaka za Africa Netball Championships ez’omwaka guno 2023, kyokka abakulu bakakasa nti ejja kwetaba mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup ezigenda okuberawo mu January omwaka 2024 mu Bungereza, era zakwetabwamu Bungereza, Australia, New Zealand ne Uganda.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe