Ddiifiri munnauganda Shamirah Nabadda ayongedde okugwa mu bintu bwalondeddwa ng’omu ku baddifiri 73 abagenda okulamula mu mpaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka guno 2025 ezigenda okubeera e Morocco.
Shamirah Nabadda ye ddifiri munnauganda yekka afunye omukisa ogulamula mu mpaka zino, era ono ali ku baddifiri 28 abagenda okubeera mu kisaawe wakati.
Shamirah Nabadda agenze okulondebwa okulamula mu mpaka zino nga yakamala okulondebwa ekibiina ekiddukanya omupiira ku ssemazinga Africa ekya CAF, nga ddifiri omukazi eyasinze okulamula obulungi omwaka guno 2025.
Empaka za Africa Cup of Nations zigenda kutandika nga 21 December 2025, okutuuka nga 18 January omwaka ogujja 2026 e Morocco.
Empaka zino zigenda kwetabwamu amawanga 24, era Uganda yeemu ku mawanga gagenda okuvuganya mu mpaka zino eri mu kibinja C.
Mu kibinja kino mulimu Nigeria, Tunisia ne Tanzania, nga Uganda ejja kusooka kuzannya ne Tunisia nga 23 December.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 35 nga zitegekebwa okuva mu 1957.
Ivory Coast be bannantameggwa b’empaka ezasembayo aza 2023.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












