Government esaasanya obuwumbi bwa shs 141 okusasula abakadde abasussa emyaka 80 egy’obukulu, akasiimo kabwe aka buli mwezi
Ministry yekikula ky’abantu egamba nti obudde buno yeyambisa obuwumbi 141 okusasula abakadde abasoba mu mitwalo 30 abali waggulu w’emyaka 80, nti kyokka mu mbalirira y’eggwanga eweebwa obuwumbi bwa shs 120 bwokka.
Aggrey David Kibenge Omuteesiteesi omukulu owa Ministry y’ekikula ky’abantu, agamba nti waaliwo ekiteeso ekissa ku myaka abakadde kwebalina okutandika okuweebwa akasiimo, bave ku myaka 80 okukka ku myaka 60 egy’obukulu.
Agambye nti singa kino kikolebwa kitegeeza bagenda kwetaaga obuwumbi bwa shs obusoba mu 400 ate government zetalina.
Wabula Kibenge agamba nti abakadde okutandikira ku myaka 60 n`okudda wagulu, government erina omutemwa gw’ensimbi gweyabateerawo okwewola bekulakulanye nga sizakukomyawo.
Buli mukadde asussa emyaka 80 nga yewandiisa ng’alina n’endagamuntu, government emusasula emitwalo 25,000/= buli mwezi.
Bisakiddwa: Musisi John