Ababaka ba parliament abatuula ku kakiiko ka parliament akalondoola ensaasanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo mu bitongole bya government, balaze obwenyamivu ku ngeri enteekateeka ya government ey’okukwasizaako abakyala eya Grow project gyetambuddemu akasoobo okubuna ebitundu by’eggwanga naddala ebyo ebiri mu masoso g’ebyalo.
Bwabadde alabiseeko eri akakiiko Kano, akulira enteekateeka eno eya Grow Dr.Aisha Kasolo agamba nti, Ssaababalirizi w’ebitabo bya government weyafulumiza alipoota eno ebadde yekenenyezebwa ey’omwaka oguwedd 2024, enteekateeka ya Grow yali kumutendera ogusookerwako wabula kati wetwogerera enteekateeka eno yatandise dda okubuna ebitundu byeggwanga ebiwerako, ng’era abakyala baayo baatandise dda okujiganyulwamu.
Wabula Ababaka abatuula ku kakiiko okubadde ssentebe wakakiiko kano era omubaka wa Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi, omubaka wa kalungu west Joseph Ssewungu Gonzaga, n’omubaka omukyala owa district ya Adjumani, Jessica Ababiku bino babikubyemu ebituli, nga bagamba okusinziira kukunoonyereza kwebakoze enteekateeka eno erimu kyekuubira naddala ku district ezizze ziweebwa ensimbi zino kyebogeddeko ngakabonero akobusosoze.
Ababaka bano batuuse n’okumenya ebitundu okuli Kyotera, Butambala , Kyankwanzi ngeno bakawaayo omukyala omu, Kalungu bali 6 bokka, kko nebirala ebitafunangayo mukyala noomu afuna ku nsimbi zino.
Mukwanukula addukanya enteekateeka eno Dr Aisha kasolo agamba nti nga government bali mu nteekateeka eyogerezeganya n’abavujjirizi aba banka y’ensi yonna ekendeeze kubukkwakulizo, obuli mu kufuna ensimbi zino, wabula alambuludde zitunuulidde kuweebwa bakyala abo bokka abaliko kyebetandikiddeko.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka