Olukiiko oluddukanya empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere lutaddewo olwa nga 01 October,2023 okuzannyibwako emipiira egy’omutendera gwa semifinal ku luzannya olusooka, ate okuddingana kubeeewo nga 08 October,2023.
Ku luzannya olusooka Gomba egenda kuzuzumba ne Buddu mu kisaawe e Kabulasoke olwo baddingane mu mu kisaawe kya Masaka Recreation grounds.
Mawokota egenda kuttunka ne Bulemeezi e Buwama olwo baddingane mu kisaawe kya Kasana Luweero.
Gomba okuyitawo yawanduddemu Ssingo ku mugatte gwa goolo 4-1.
Bulemeezi yawanduddemu Buwekula ku mugatte gwa goolo 2-1.
Mawokota yawanduddemu Buvuma ku mugatte gwa goolo 1-0.
Buddu yawanduddemu Kyadondo, wabula Kyadondo ku mupiira ogwasembyeyo teyalabiseko mu kisaawe e Masaka.
Buddu oluzannya olwasooka yaluwangula goolo 2-1 mu kisaawe e Gayaza.
Patrick Nsanja omuwandiisi w’olukiiko oluteekateeka empaka z’amasaza ga Buganda, avumiridde ekikolwa kya Kyadondo obutagenda Buddu n’agamba nti olukiiko lugenda kutuula lusalewo ekibonerezo ekisaanidde okuwebwa Kyadondo.
Season eno Kyadondo siyesoose okweyisa bweti nga ne Busujju yagaana okugenda e Ntenjeru okuzannya ne Bugerere ku mutendera gw’ebibinja.
Amasaza gonna agatuuse ku mutendera gwa semifinal gawangulako ku mpaka zino, nga Gomba yakawangula empaka zino emirundi 5, Mawokota emirundi 3 ate Buddu ne Bulemeezi bonna bakawangula emirundi 2 buli omu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe