Enkumi n’enkumi z’abakungubazi beyiye ku limbo yabasaseredooti eyokuseminariyo e Kisubi mu kuziika omugenzi Rt. Rev. Msgr. Expedito Magembe,
Fr.Magembe abadde omuddabiriza w’obulamu n’emitima gy’abantu ng’ayita mu kusaba okwokutendereza, ng’asinziira ku lusozi Mount Sion Prayer Centre e Bukalango.
Yafa ku Wednesday nga 7 May,2025 ku myaka 88 egy’obukulu.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yabadde omukungubazi omukulu ngono atenderezza omulimo ogw’ettendo omugenzi gwakoledde Uganda okuviira ddala mu buvubuka bwe,era nti yakola ky’amaanyi mu ku yambako government ye okunyweera mu buyinza okuva mu gye 80
Pulezidenti Museveni mungeri yemu akakasizza ekereziya Katolika nti government yakugenda maaso eyambeko okumaliriza omulimo gw’okuzimba Bukalango era byonna bibadde mu bubaka obusomeddwa Minister webyentambula n’enguudo Gen.Katumba Wamala.
Okuziika kuno kwetabiddwako ebikonge okuva mu government ,enzikiriza ezenjawulo,banaddiini bangi nga gitandise nokuyimba ekitambiro kya Missa ekikulembeddwa Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere.
Ssaabasumba agambye nti ekkereziya esaaliddwa nnyo olw’okuviibwako omuwereza atabadde wabuligyo, omulyooyi w’emyoyo,omuyiiya w’ennyimba, era omuddabiriza w’emitima gyabakabiriddwa
Mu kusabira Omugenzi Rt. Rev. Msgr. Expedito Magembe obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa Omwaami wa Ssaabasajja ow’esaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza ,era yasomye obubaka bwa Katikiro Owek Charles Peter Mayiga, atenderezza omugezi olwobuwereza obulungi .
Senkulu w’eeddwaliro lye Nsambya Dr.Andrew Sekitooleko nga yaabadde omusawo Msgr. Expedito Magembe yakosebwa ekizimba ekyakosa amawuggwe, nekitambula okutuuka ku Bwongo bwe nekikosa obulamu bwe bwonna,nga ajajabiddwa wano mu Uganda nebweeru okutuusa lwe yasizza ogwenkomerero.
Bisakiddwa: Kakooza Georgewilliam