Omulabirizi we Mityana Bishop Dr. James Bukomeko Ssalongo agamba nti omulembe gw’abavubuka bannantagambwako kivudde ku bazadde abatayagala kubagambira ku baana babwe, nga abatuuse n’obutassa kitiibwa bu bulamu bw’abalala.
Bishop Bukomeko agamba nti abazadde n’abakulembeze balina okudda ku nnono baddemu okukuba ttooci mu bintu ebikyamizza abavubuka, mu kifo ky’okibaleka okukula omuwawa, abamu nebatuuka okufuuka bakijambiya abatirimbula abantu.
Abadde mu kkanisa ya All apostles Church of Uganda e Wattuba mubusumba bwe Kawanda, ku mukolo nga Rev Canon Eria Paul Luzinda yebazza Katonda olw’okuweza emyaka 98 egyobukulu .
Bishop Bukomeko era asabye abazadde okuyambako abaana babwe okussa ekitiibwa mubufumbo basobole okwewala obufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa bwagamba buno yensibuko y’obutabanguko mu maka .
Omulabirizi we Namirembe Bishop Moses Banja asiimye Canon Eria Paul Luzinda olwokukuuma ekitiibwa ky’obuweereza n’okutendeka abawereza abawera abasobodde okuyittirako mu mikono gye
Ssentebe wa district ye Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika kyennyamidde olw’omulembe oguliwo obutassa kitiibwa mu bantu abakulu.
Omujjaguza Rev Canon Eria Paul Luzinda asiimye omutonzi amusobozesezza okutuuka ku myaka 98, nga era agamba nti mu mativu nebyonna Katonda byamukozesezza.
Emikolo gyetabiddwako abalabirizi abawera okubadde , Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula Bishop Jackson Matovu , Bishop James Williams Ssebaggala ne Bishop Eria Paul Luzinda Kizito abaali mubulabirizi bwe Mukono .
Bisakddwa: Tonny Ngabo