Akakiiko akalwanyisa enguzi mu Maka g’obwa president aka Anti Corruption Unit kakutte omubaka wa president mu district ye Bukedea Wilberforce Tukei n’omuduumizi wa police mu kitundu ekyo sako senior police officer Charles Okoto ku bigambibwa nti benyigira mu mivuyo egyetobeka mu kulonda ssentebe wa district ye Bukedea okwaliwo gyebuvuddeko.
Kigambibwa nti batiisatiisa banamawulire, abaali besimbyewo saako abantu abajjanga okusuula akalulu kabwe n’abamu nebalemesebwa okulonda.
President Museveni yalagira akakiiko kano okukola okunoonyereza ku mivuyo gyonna egyalabikira mu kujjuza ekifo Kya Ssentebe wa Lc 5 mu district eyo, oluvanyuma lwokutegezebwa nti waliwo abaali besimbyewo abaatulugunyizibwa ab’ebyokwerinda.
Okusinzira ku kakiiko ka Anti Corruption Unit omubaka wa president Wilberforce Tukei alangibwa obutatwala buvunanyizibwa ng’akulira ebyokwerinda mu kitundu, okulungamya engeri okulonda gyekwalina okwatibwamu obutabamu mivuyo.
Mu kaseera kano akakiiko ka Anti Corruption Unit kakakwata abantu 8 ku byekuusa ku mivuyo gy’okulonda ssentebe wa District ye Bukedea.
Abakwate abalala ye akulira eby’obukessi mu district eno Ehguloiti Alex, n’amyuka akulira okunoonyereza ku misango Oriokot Simon Peter ne ba police constable Akankwasa Onesmus police, Kamakoin Difas , Born Naibei ne Malinga Dan.
Baasimbibwa mu kooti e Bukedea eyabasindika mukomera okutuusa nga 27 July,2023 lwebanadda okwewoozako.#