President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni yoomu ku baweerezza obubaka obukubagiza banna Kenya, olw’okufiirwa munna byabufuzi abadde ew’ensonga Raila Amoro Odinga aziikiddwa olunaku olwaleero nga 19 October,2025.
Obubaka bwa President Museveni busomeddwa president wa Kenya William Ruto.
Odinga wadde ng’azze avuganya mu kulonda okwenjawulo okufuuka president wa Kenya omujjuvu nekitasoboka, naye mu kumuziika aziikiddwa mu bitiibwa ebijjuvu, n’okukubirwa emiziinga 21.
President wa Kenya Sameoi William Ruto agambyenti wadde Odinga abadde tawangula kifo kya president wa Kenya, nti naye abadde president w’abantu, nga n’olwekyo abadde alina okuziikibwa mu bitiibwa.
Emikolo egyokusiibula Odinga gyibade Bondo mu Kenya.
Presidenti wa Kenya William Ruto agambye nti omuntu eyamusomesa ebyobufuzi ye Mugenzi Raila Odinga ,era nti bweyavuganya naye mu kalulu ka 2022 yayita mu kusoomozebwa kwamaanyi.
Ruto agambye nti era oluvannyuma lw’okumuwangula, yakkiriziganya nebogerezeganyanga ne Raila Odinga nebatandiika okukolagana bazimbe Kenya, era naye yamwanguyira kasita okwogerezeganya kuno baakulembeza ensi yabwe.
Eyaliko president wa Nigeria Olusegun Mathew Okikiola Obasanjo ng’omugenzi abadde mukwano gwe nfanfe, agambye nti kizibu nyo kati mu Africa okusanga munna byabufuzi ayagala ensi ye nga Raila Odinga, nga agamba nti abasing kati ebyobufuzi baabifuula byabusuubuzi kukolamu nsimbi.
Obasanjo agambye nyi Odinga tabadde muli wankwe, ebintu bye bibadde mu musana era naasaasira eggwanga lya Kenya ne Africa okufiirwa omukulembeze ng’ono.
Eyaliko president wa Kenya Uhuru Kenyata agambye nti eggwanga ligenda kutwala obudde bungi okuddamu okufuna munna byabufuzi ayagala ensi ye naddala okulwanirira eddembe ly’obuntu mu ngeri etali yabukuusa nga Odinga bw’abadde.
Banna byabufuzi bangi okuva mu mawanga ga Africa betabye mu kuziika Raila Amoro Odinga, eyava mu bulamu bw’ensi ku Thursday nga 16 October,2025 e India gyeyali atwaliddwa okujjanjabibwa.
Muwala we Winnie Odinga ategeezezza, nti kitaawe mu ddwaliro gy’abadde ajjanjabibwa abadde atera okutambulako ku makya okwetoloola eddwaliro mu ngeri y’okugolola amagulu.
Wabula ku lunaku lweyafudde yabadde atambula amaanyi negakendeera nakka wansi, awo abasawo webamuyodde nebamuddusa.mu kasenge k’abayi eyo gyeyakutukidde.
Odinga yalaama okumuziika obutasukka ssaawa 72 ng’afudde.
Raila Amoro Odinga Baba yafiiridde ku myaka 80 egy’obukulu, yazaalibwa mu 1945 naafa mu 2025.#












