President wa Uganda Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni alonze eyaliko omumyuka we ,Prof Gilbert Bukenya ng’omuwabuzi we omukulu ku nsonga z’obutonde bwensi n’obuyonjo mu ggwanga.
Prof Gilbert BUkenya yali omumyuuka wa President w’eggwanga wakati w’omwaka 2003 – 2011, era yaliko omubaka wa parliament akiikirira ekitundu kya Busiro North
Ekiwandiiko ekikakasa okulondebwa kwa Prof Gilbert Bukenya ng’omuwabuzi w’omukulembeze w’eggwanga omukulu ku nsonga zobutonde bwensi nobuyonjo ,kivudde mu kitongole ky’amawulire eky’amaka gobwa president
President mu kiseera kino alina abawabuzi ku nsonga ezenjawulo abasoba mu 100, abasasulwa omusaala ,ensako, obujanjabi ,emmotoka nebirala.#