President w’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ki FUFA, Ssalongo Eng Moses Magogo, yoomu ku bantu 3 abali mu lwokaano lwa president w’ekibiina ekiddukanya omupiira mu bitundu eby’obuvanjuba namasekati ga Africa ekya CECAFA.
President wa CECAFA agenda kulondebwa ku Saturday nga 07 February,2026, mu ttabamiruka w’ekibiina agenda okubeera e Djibouti.
Eng Mosese Magogo avuganya ne Paulos Andemariam owa Eritrea ne Alexandre Muyenge owa Burundi.
Alexandre Muyenge owa Burundi ye president ow’ekiseera aliko kati, nga yadda mu bigere bya Augustino Maduot Parek owa South Sudan eyasuulawo entebe eyo.
Mu ttabamiruka ono abakulu era bagenda kulonda n’omumyuka wa president, okuyisa budget y’ekibiina ey’omwaka guno 2026 n’okuyisa empaka ezigenda okuzannyibwa omwaka guno 2026.
Ba memba ba CECAFA bali 12 okuli Burundi, Djibouti, Ethiopia, Eritrea, Rwanda, Kenya, Tanzania, Uganda, Somalia, Sudan, South Sudan ne Zanzibar.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












