Oluvannyuma lw’ebbanga lya myaka mukaaga nga bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya government ya Tanzania bateereddwako ekkoligo eribakugira okukuba enkungaana z’ebyobufuzi,kyaddaaki bafunye obuweerero president Samia Suluhu Hassan abakkirizza betaaye.
Ekkoligo lino lyali lyassibwawo President Omugenzi John Pombe Magufuli ng’agamba nti bannabyabufuzi baali bamala obudde bungi ne nsimbi mu byobufuzi, mu budde mwebaaliteeredde essira ku mirimu egikulaakulanya eggwanga.
Wabula ekkoligo lino lyawakanyizibwa nnyo abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu ne bannamateeka nga bagamba nti ekkoligo eryo lyali limenya ssemateeka akkiriza bannansi okwenyigira mu by’obufuzi obudde bwonna.
Pombe yali yalagira nti ebyobufuzi bikkirizibwa mu kiseera kya kunoonya kalulu kyokka, nga bwekaggwa, bebawangudde nga badda ku bbali awatali kuddayo kukuba lukungaana lwonna.
Wabula President Suluhu bwabadde mu nsisinkano n’abakulira ebibiina by’obufuzi ekkumi n’omwenda (19) ebyawandiisibwa era ebikkirizibwa mu mateeka e Tanzania, bakkaanyizza nti bannabyabufuzi baddemu betaaye era bakole ebyobufuzi byabwe kyokka nga tebataataaganya mirimu gya bannansi.
“Buvunaanyizibwa bwaffe nga government okubawa obukuumi mu nkungaana zammwe, nsuubira nga muneeyisa mu ngeri ya kintu kikulu ataataataaganye mirimu gyabalala n’okusiga obukyayi”
Abatunuulizi bebyobufuzi mu Tanzania bategeezezza nti kino Suluhu kyakozi ttaffaali ddene nnyo mu byobufuzi bwe, kubanga kiyamba okuzimba n’okukuuma enkolagana ye ne bannabyabufuzi abalala gyeyatandikako mu 2021 oluvannyuma lwokukwata obuyinza nga mukama we Magufuli afudde.
Kigambibwa nti mu myezi gyetukubye amabega, government ya CCM ekulemberwa President Suluhu ebadde ekukuta n’aboludda oluvuganya government ekirowoozebwa nti oba oli awo zino ze nsonga zebabadde boogerangako.
President era asiinyizza ku nteekateeka z’okutereeza mu ssemateeka w’eggwanga wabula tatangaazizza buwaayiro bwetaaga kukyusaamu.#