President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ayagala Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo okutangira abantu ssekinnoomu okweyimirirwa, singa bakwatibwa mu by’okubba n’okubulankanya ssente okuva mu nteekateeka za government eze Emyooga ne Parish Development Model (PDM).
Museveni abadde ayogerako eri abakulembeze okuva mu bitundu by’e Teso ku kisaawe kya Boma North Play Ground mu District y’e Kumi.
Akikkaatirizza nti okubba ssente za government tekujja kugumiikirizibwa, era abanasingisibwa emisango batekeddwa okusibwa, nga kwotadde n’okulagirwa okuzza ssente ezabbibwa.
Abatuuze bategeezezza president nti basanga okusoomoozebwa mu nkola y’Emyooga e Teso, olw’abakulembeze okubagyako ensimbi nga babasubizza okubayambako okufuna ssente.
President yennyamidde olw’okuwa akakalu ka police eri ababeera bakwatiddwa olw’okubulankanya ssente za PDM ne Emyooga, n’alagira omuduumizi wa Police mu bitundu bino obutakkiriza muntu yenna eyeenyigidde mu kubba ssente za government.
Museveni akikkaatirizza nti okukuuma ebyenfuna by’ekyalo kikulu nnyo era nga government tegenda kukkiriza bantu ssekinnoomu kutyoboola nteekateeka zino .
Okusinziira ku Museveni, abantu ababba ssente za government balina okusibwa mu kkomera n’okulagirwa okuzza ssente ezo.
Enkola ya Parish Development Model yatongozebwa mu February wa 2022, okutumbula embeera z’abantu n’enyingiza ya Bannauganda.
Enkola eno yagendererwa okukyusa ebyenfuna mu maka n’ebyalo.
Bisakiddwa: Betty Zziwa