President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni ayanirizza ababaka b’amawanga abajja ba 3, naasuubiza okukolagana nabo obulungi okunyweza obwaseruganda wakati wa Uganda na mawanga gyebavudde.
Ababaka bano bavudde mu Ireland,France ne Thailand era President Museveni abaaniririzza mu Maka g’obwa President Entebbe.
Kuliko Ambassador Margret Gaynor okuva mu Ireland, Virginie Leroy wa France ne Morakot Janemathukon okuva mu Thailand.
President Museveni abannyomyodde nti Uganda etadde amaanyi ku bintu 4 omuli eby’obulimi ebivamu ssente, amakolero, obuweereza ne bya technologiya, era nga balina essuubi nti bakukolera wamu okuleeta enkulaakulana mu Uganda.
Ensisinako yetabiddwamu abakungu ba government yakuno abaweerako omubadde ne minister we nsonga za mawanga amalala Gen. Odongo Jeje Abubakhar nabalala.












