President Yoweri Kaguta Museveni atenderezza kkooti yekinnamaggye eya Court Martial, gyayogeddeko nti ekoze kinene okutebenkeza eggwanga ng’eyita mu kuwozesa abazzi b’emisango abakozesa emmundu n’ebintu ebirala eby’amagye.
Museveni mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti government ne parliament bwebyali tebinateekateka n’okubaga etteeka ly’amagye mu mwaka 2005, eggwanga lyali lisaanikiddwa abamenyi b’amateeka abaakozesanga emmundu nebyokulwanyisa ebirala okutuusa obulabe ku bantu omuli n’okubatta.
Awadde ekyokulabirako eky’e Karamoja kyagambye nti kyali lisaanikiddwa abavubuka abaali babbisa emmundu ,wabula okuva kkooti yamaggye lweyabiyingiramu neesindika abavubuka abali eyo mu 900 mu kkomera e Kitalya, kati Kalamoja yafuna obuweerero.
Agugumbudde bannamateeka abazze bawakanya ekyokuvunaanira abantu babulijjo mu kkooti y’amagye, nagamba nti kasita munnansi atalina kubeera nammundu asangibwa nayo era neyenyigira mu bumenyi bw’amaateeka, kkooti y’amagye yakumukolako
President Museveni agambye nti kkooti y’amagye bweyali tenateekebwawo, kkooti zabulijjo zaali zifumbekeddemu emisango emiyitirivu egyekuusa ku bumenyi bwamaateeka obwebika ebyenjawulo, kale nga kkooti zino zaali teziwa budde bumala kukola ku misango gy’emmundu mu bwangu, kwekusalawo okutondawo kkooti yekinnamaggye ewozese abasangibwa nemmundu nebyokulwanyisa ebirala.
Ekyokuteekawo kkooti eno eyamaggye kyali kituufu nnyo era n’emirimu gyekola giyambye nnyo okutebenkeza eggwanga, era esaanye okusigalawo.
Ebigambo bya General Museveni bijjidde mu kiseera, nga waliwo okusika omuguwa mubannamateeka nebannabyabufuzi abawakanya ekya kkooti eno okuwozesa abantu babulijjo abatali bannamaggye mu kkooti eno eyamaggye
Muno mulimu bannabyabufuzi abawerako okuli Retired Col Dr Kiiza Besigye akyasembyeeyo saako abawagizi ba NUP abawerako abazze bavunaanibwa mu kkooti eno nti olwokusangibwa nebyokulwanyisa
Bannamateeka nebannabyabufuzi balumiriza nti government ya NRM ekozesa kkooti eno okutigomya abagivuganya.
President waaviiriddeyo ku nsonga za Court Martial, nga ne kooti ejulirwamu yakawa ensala yaayo eyasomeddwa Omulamuzi Lydia Tebatemwa, eyalaze nti ebisalibwawo byonna kooti y’amagye bibeera byankomeredde era kooti ya bulijjo tebiyingiramu.
Ensala eno yesigamiziddwa ku musango ogwassibwayo Lt. Ambrose Ogwanga eyali ajulidde mu kooti za bulijjo ng’awakanya ekibonerezo ekyamuweebwa kooti y’amagye eky’okusibwa emyaka 29.#