President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni atemye evvuunike ery’okuzimba univeristy ya government mu kitundu kya Bunyoro-Kitala era egenda kuyitibwa Bunyoro University.
Agitongolezza mu district ye Kikuube District mu kulambula kwaliko mu kitundu ekyo gy’amaze ennaku bbiri.
Agambye nti government erina entegeka y’okuzimba University eziwera 18 mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Government yakuwaayo obuwumbi bwa shs 15 okuziimba ekizimbe ekigenda okusookera ddala ekya University eno, etudde ku yiika 100 ezaawebwayo Dr. Canon Henry Wamani.
President Museveni abasuubizza nti oluvannyuma University eno government yakujoongera ensimbi, ezimu ku zigenda okuva mu mafuta agasimwa mu kitundu ekyo.
Minister w’ebyenjigiriza era mukomukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museveni agambye nti Bunyoro University egenda kusiinga kusomesa bya science ne technology.
Minister agambye nti akakiiko akavunaanyizibwa ku bisomesebwa mu matendekero agawaggulu aka National Council for Higher Education (NCHE) kaamaze dda okukakasa amasomo 18 agagenda okusooka okusomesebwa mu Bunyoro University.
Ssentebe w’akakiiko akassibwawo okulambika enteekateeka ya Bunyoro University aka University Task Force Professor Samuel Kyamanywa agambye nti baludde nga balindirira University eno, era balina essuubi nti egenda kusitula eby’ebyenjigiriza mu kitundu kya Bunyoro Kitala wamu n’enkulaakulana.
Bisakiddwa: Betty Zziwa