President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni atadde omukono ku mateeka 3 agaayisibwa parliament gyebuvuddeko, era gafuuse amateeka amajjuvu agalindiridde okussibwa mu nkola.
Kuliko; 1.The Building Control (Amendment) Act 2025 eriruηamya okuzimba ebizimbe mu ggwanga.
2. The Mortgage Refinance Institutions Act 2025 eriruηamya okuvujirira okuzimba amayumba mu nkola ey’ekibanja mpola.
3.Etteeka lya The Valuation Act, 2025 eriruηamya okubalirira omuwendo gw’ensimbi oguggya mu bintu ebitundibwa.
Etteeka lino erya The Valuation Act 2025 era lisaawo ekitongole ekiruηamya ababalirizi n’emiwendo gyebigulibwa n’ebitundibwa ki Institute of certificated valuers nga kyekiggya okubawanga certificate ezibaluηamya okukola omulimu ogwo.
Etteeka lino ligendereddwamu okuyambako eggwanga okufuna nga okubalirira okutuufu okwemiwendo gy’ebintu ebitundibwa nebigulibwa mu government n’ebyobwannannyini; okugeza omuwendo gwa yiika yettaka, ebirime n’ebirala ebisangibwa mu ttaka naddala nga government eryagala okuligula okukolerako emirimu gyalyo.
Ennongosereza ezaakolebwa mu tteeka lya Building Control Bill eriruηamya okuzimba ebizimbe mu ggwanga, liwera okuzimba ekizimbe kyonna ewatali pulaani, era liwa ekitongole ki National Building review board obuyinza okumenya ekizimbe ekyo.
Etteeka era lisaawo ebibonerezo ebikakali eri abantu abava ku pulaani eyabaweebwa.
Etteeka lya The Mortgage Refinance Institutions Act, 2025 eriruηamya okufuna amayumba naddala agasulwamu agomulembe mu nkola ey’ekibanja mpola, ate ku magoba amatono ddala, ligendereddwamu okusobozesa bannansi okufuna amayumba agomulembe okulongoosa ku byensula
Amyuka ssentebbe w’akakiiko ka parliament akekeneenya amabanja ga government Robert Migadde Ndugwa agambye nti etteeka lino lyakusobozesa abantu abagala okufuna amayumba agomulembe ku kibanja mpola okuwona okubinikibwa amagoba amayitirivu.
Robert Migadde Ndugwa agambye nti bank enkulu ey’eggwanga yegenda okuluη
amya kampuni zonna okuli bank z’ebyobusuubuzi mu nteekateeka yonna eyokusissa etteeka lino mu nkola.
Dr Keefa Kiwanuka memba ku kakiiko ka parliament akeekeneenya ebbago ly’etteeka lino, agambye nti singa lissibwa mu mu nkola mu butuufu bwalyo, bannauganda bangi baakufuna amayumba mu nkola ey’ekibanja mpola okuva mu bank ezenjawulo ku magoba amatono ddala.
Mu tteeka lino erya The Mortgage Refinance Institutions Act, 2025,; okugeza singa government ebeerako amayumba geyagala okuzimbira abantu ku nkola eyakibanja mpola ,ensimbi ezo yakuziteekanga mu bank y’ebyobusuubuzi, bank ekwatagane ne kampuni enzimbi zamayumba, olwo omuntu aweebwe ennyumba ku magoba amatono ddala.
Omuntu abeera aweereddwa ennyumba, asasule mu nkola eyakibanja mpola okumala ebbanga erinaaba lirambikiddwa bank enkulu ey’eggwanga.
Alipoota eyakolebwa ekitongole ky’eggwanga eky’ebibalo ki UBOS ,yalaga nti Uganda erimu ebbula ly’amayumba agomulembe agali eyo mu bukadde 2 n’ekitundu.
Bannayuganda ebitundu 98% abafuna omusala oguli wansi w’emitwalo 19 buli mwezi, tebasobola kusula mu mayumba gamutindo.#













