President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa atadde omukono ku mabago g’amateeka 9 negafuuka amateeka agalindiridde okutandika okussibwa mu nkola.
Kuliko etteeka eriggyewo obuvunanyizibwa bw’ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority, buzziddwa mu ministry y’ebyentambula n’enguudo.
Amateeka amalala kuliko erikwata ku kitongole ky’amata ki Dairy Development Authority, Cotton Development Authority nga byombi byagibwawo obuvunanyizibwa bwabyo nebutwalibwa mu ministry y’ebyobulimi n’obulunizi.
President era atadde omukono ku tteeka eddala lya Uganda Road Fund eryagyawo ekitongole kino obuyinza nebutwalibwa mu ministry y’ebyentambula n’enguudo.
Amateeka amalala agasiddwako omukono kuliko erya The High education Students Financing Act eryagyawo ekitongole ekiwola abayizi abateesobola mu byensimbi okusoma mu matendekero agawagulu ki High education students financing board, obuvunanyizibwa bw’ekitongole kino bwatwalibwa mu ministry y’ebyenjigiriza.
Etteeka eddala lyeryasaawo ekitongole ki NITA-U ekivunanyizibwa ku mayengo ga Internet mu ggwanga nga obuvunanyizibwa bwakyo bwazzibwa mu ministry ya ICT n’okulungamya eggwanga, wabula ekitongole kino okutwalibwa wansi wa ministry eno, kyakukolebwa mu bbanga lya myaka 3 nga palament bweyasalawo olwa projects ezikyagenda mu maaso.
Omukulembeze weggwanga wabula etteeka ly’emmwanyi, parliament lyeyayisa okuggyawo ekitongole kyemwaanyi ki UCDA ddyo tanalisaako mukono, era tekitegeerekese oba ng’ alizizzaayo mu parliament okwetegerezebwa oba akyaliko byakyebuuza.