President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni agamba nti abantu ssekinnoomu bebalemereddwa okwegobako obwavu, nti kubanga government etaddewo enkulaakulana yonna eyeetagisa esobozesa bannauganda okwerwanako bave mu bwavu.
President Museveni okwogera bino abadde ku mikolo egy’okukuza olunaku lw’ameefuga ga Uganda ag’omulundi ogwe 62.
Giyindidde ku ttendekero lya Busikho Primary Teachers College mu town council ye Masafu mu district ye Busia.
President Museven agambye nti akooye okulaba bannansi mu bwavu ate nga balina obwetwaze.
President Museveni era asinzide wano naagamba nti kimwenyamiza okulaba nti waliwo banna Uganda abakyalemye okugatta omutindo ku byebakola ekiviriddeko eggwanga okufiirizibwa naawa ekyokulabirako amawanga ga Africa emiganyulo gyegasonola okufuna okuva mu mmwanyi ezisobola okulimibwa bannauganda nebafunamu.
Annyonyodde ensonga 4 zaasimbyeko essira, Uganda kwegenda okutambulira mu kujaguza emyaka gino 62, omuli Okutondawo emirimu, Obuweereza, nkulaakulana, n’obugagga.
Abantu 40 baweereddwa emidaali egibasiima olw’obuweereza bwabwe eri eggwanga, ku mikolo gy’okujaguza emyaka 62 egy’ameefuga ga Uganda.
Emidaali gino nga giweereddwa abasirikale abaweerezza eggwanga obuteebalira wamu b’abanoonyerezza ku bintu ebigasizza eggwanga, gigabiddwa mu miteeko egy’enjawulo okuli ogwa Luweero Trianngle medal, Masaaba Star Medal, Police Long service Gold Medal, Police personal sacrifice medal ne Police Meritorious medal.
Omukolo gwetabyeko president wa Central African Republic Faustin – Archange Touadera.
Ssentebe w’enteekateeka z’emikolo gino era nga ye minister avunaanyzibwa ku nsonga za wofiisi ya president, Milly Babalanda agambye nti babadde n’olusiisira lw’ebyobulamu olumaze ennaku 5 mu kitundu, ng’abantu abasoba mu 1000 bajanjabiddwa endwadde ez’enjawulo.
Uganda yafuna obwetwaze okuva mu bafuzi b’amatwale Abangereza nga 09 October,1962.#