President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni alangiridde olutalo ku bantu abakukusa ssente, naabo abazivujirira ebikolwa by`obutujju mu ggwanga agambye nti agenda kufafagana nabo.
President Museveni agamba nti tewali ggwanga lisobola kukulaakulana nga waliwo abaliyita emabega nebavujirira ebikolwa by`obutujju, wamu nabo abakozesa ebyuma bikali magezi nebabba ssente ku account z’eggwanga n’ebitongole ebyenjawulo.
Obubaka bwa president bumusomeddwa Ssaabaminisita wa Uganda Robina NabBanja, bwabadde agGulawo olukuηηana olwa 49th olugatta amawanga agenjawulo mu Africa okulwanyisa ekikukusa nsimbi, olumanyiddwa nga 49th Eastern and And Southern Africa Anti-Money Laundering Group(ESAAMLG).
Lubumbujjira ku Speke Resort e Munyonyo.
President Museveni asuubizza nti government ya Uganda egenda kwongera okumyumyula amateeka agakangavvula abakukusa ensimbi, naabo abakozesa technologiya okubba Bank.
Omuteesiteesi omukulu owa Ministry y’ebyensimbi Ramathan Goobi, agambye nti government ya Uganda eyongedde okuziba emiwaatwa gyonna egibadde gikukusizibwamu ensimbi.
Ramathan Goobi era ayongeddeeko nti Africa efiirwa ssente nnyingi nnyo buli mwaka mu Ssente zino ezikukusibwa, era nasubiiza nti tebayinza kwetuulako bwetuuzi nebatakoma kumuze guno.
Bisakiddwa: Musisi John